Amawulire

Gavt esabidwa okuteeka ensimbi mu masomero ga KCCA

Gavt esabidwa okuteeka ensimbi mu masomero ga KCCA

Ivan Ssenabulya

June 6th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Gavumenti esabiddwa okuteeka omwoyo ku byenjigiriza mu masomero agalabirirwa ekitongole kya Kampala Capital City Authority (KCCA)

Amassomero ga pulayimale gali 79, aga sekendule gali 22 ate egebyemikono gali 10 agalabirirwa KCCA.

Okusinzira ku ntekateeka ya KCCA eyemyaka 5 ku masomerobeetaaga obuwumbi bwensimbi 500bn songa buli mwaka baweebwa obuwumbi bwensimbi Shs 48bn

Kati lodi meeya wa kampala Elias Lukwago agamba nti ensimbi zino ntono nyo tezisobola kubasobozesa kuteereza byetaagisa mu masomero gano, omuli nokusasulako omusaala gwa baosomesa.

Era yewunya okulaba nti amasomero ga gavt aga bonna basome agali mu byalo gafuna ensimbi nyingi kwaago agali mu bibuga.