Amawulire

Gavt esabiddwa okwongera kunsimbi zésindika mu masomero ga bonna basome

Gavt esabiddwa okwongera kunsimbi zésindika mu masomero ga bonna basome

Ivan Ssenabulya

January 27th, 2023

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Ssentebe w’akakiiko akakola ku bigezo mu gwanga aka UNEB, Prof Mary Okwakol, agamba nti ebigezo bino byakolebwa wansi w’okwerinda okusaanidde nga n’ebikolwa eby’okubbira ebigezo byakendeera.

Okuzinziira ku Prof Okwakol, abo bonna abagezaako okubba ebigezo baakwatibwa ne baggulwako emisango ate balala ne bayimbulwa kakalu ka kkooti.

Agambye nti bonna abanasingibwa omusango gwokubba ebigezo bakusindikibwa mu Kabula muliro ng’etteeka lya UNEB bwerilagira.

Ono wabula asabye gavumenti okwongera ku nsimbi z’esasulira abayizi abali wansi w’enkola eya bonna basome bano ng’omuwendo gwabwe gweyongeddeko.