Amawulire

Gavt esabiddwa okwongera amaanyi mu kulwanyisa ebikolwa ebyokukabasanya abakyala

Gavt esabiddwa okwongera amaanyi mu kulwanyisa ebikolwa ebyokukabasanya abakyala

Ivan Ssenabulya

September 20th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Gavumenti ne bannakyewa basabiddwa okwongera amaanyi mu kawefube owokulwanyisa ebikolwa ebyokukabasanya nokutulugunya abakyala.

Bino bifulumidde mu alipoota eyakolebwa ekibiina kya International Conference of Great Lakes Region- Training Facility wakati womwezi ogwo 5-7 2021 okuzuula abavunanyizibwa ku mbeera eyokukabasanya abakyala emiwatwa egiriwo nakiki ekiyinza okukolebwa mu kulwanyisa ebikolwa ebyokukabasanya nokutulugunya abakyala mu bitundu bya great lakes region.

Bwabadde ayanja ebyava mu kunonyereza kwabwe mu lukungana olukwata ku byokukabasanya nokutulugunya abakyala mu great lakes region mu Kampala, eyakulira okunonyereza kuno, , Dora Byamukama, agambye nti yadde nga agavt efubye okubaako kyekola wakyaliwo okusomozebwa kwamaanyi naddala mu kutuusa amawulire eri bakawonawo mu kutulugunyizibwa kuno nga abamu olwobutamanya bagyawo ebyalikozesedwa ngobujjulizi mu mbuga za mateeka.

Ono mungeri yemu asabye gavt okwanguyirizako okuyisa eteeka erikwata kukuwa obukuumi eri abajjulizi mu misango gyokukabasanya abakyala okwewala okutuusibwako obuvune bebabeera baloopye

Mungeri yemu Byamukama asabye gavt ne bannakyewa okufuna ebifo wokutabiriza abazzi bemisango egyekuusa ku kukabasanya abakyala kuba ebiseera ebisinga obungi bwebayimbula ate bafuuka kirala.