Amawulire

Gavt esabiddwa okwetegereeza ekivaako Abayekera okulumbanga e Kasese

Gavt esabiddwa okwetegereeza ekivaako Abayekera okulumbanga e Kasese

Ivan Ssenabulya

June 26th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Munnamaggye eyawumula Maj. Rubaramira Ruranga asabye gavumenti okulowooza ku ky’okwekenenya ennyo ekizibu ky’e Kasese etegeere lwaki Abayekera ba ADF kibanguyira nyo okukola obulumbaganyi mu kitundu ekyo.

Kino kiddiridde obulumbaganyi obwaliwo nga 16th June ku ssomero lya Mpondwe Lhubiriha secondary school nga bwaleka abantu 43 okuli abayizi 37 nga bafudde nga ku bano 17 baakumwako muliro ne basiriira.

Wabula obulumbaganyi obufaananako bwe butyo bwali bubaddewo mu kitundu kino omuli n’okulumba seminale ya St John e Kiburara mu 1997 abayizi 19 mwe baawambibwa.

Mu 1998, ekibinja ky’abayeekera ky’ekimu kyalumba ettendekero ly’eby’emikono erya Kicwamba mu disitulikiti y’e Kabarole kumpi ne Kasese gye batta abayizi abasoba mu 80.

Bwabadde ayogerako ne DembeFM, Maj Rubaramira eyali mu lutalo lwaleeta gavt eno mu buyinza e Luweero agamba nti baasimattuka okusinga olw’obuyambi bw’abantu b’omukitundu abaabategeezanga ku bigenda mu maaso.

Kuno kw’avudde okukkaatirizza obwetaavu bw’okuddamu okwekenneenya Kasese ng’ategedde nti abayeekera tebasobola kuwangula nga tebayambiddwako abantu.