Amawulire

Gavt esabiddwa okuvaayo nétteeka ekkakali ku Bisiyaga

Gavt esabiddwa okuvaayo nétteeka ekkakali ku Bisiyaga

Ivan Ssenabulya

February 28th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye ne Abubaker Kirunda,

Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Party kisabye gavumenti okuvaayo n’amateeka amakakali agawera ebisiyaga okusobola okunyweza empisa n’obuwangwa bw’eggwanga lino.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina enkulu mu Kampala, omumyuka wa pulezidenti w’ekibiina, Fred Dennis Mukasa Mbidde, agambye nti Uganda erina okugoberera amawanga 36 agali mu mukago gwa common wealth agafudde omuze guno omusango.

ategeezezza nti gavumenti erina okukulembeza ebiseera by’abaana ba Uganda eby’omu maaso nga kati biri mu kabi kubanga abatumbula ebisiyaga amaaso gonna batadde ku baana abagenda ku masomero.

Mbidde ayagala palamenti ezuukize ebbago ly’etteeka erirwanyisa ebisiyaga

Era ayagala mu tteeka mwogerwemu ennyingo eziwera empisa zonna ezefananyiriza ebisiyaga omuli ekya abavubuka abalenzi okusiba enviri, okutambula nga ebitundu bya makugunyu gaabwe biri bweru, okuwummula amatu ne birala

Era ayagala palamenti eteekemu akawayiro ku bantu abalina sirimu ate nebalya abaana ebisiyaga ne babasiiga obulwadde.

Omubaka wa Palamenti mu munisipaali y’e Bugiri Asuman Basalirwa asabye Bannayuganda okukomya okukubaganya ebirowoozo mu lujjudde ku bisiyaga okusobola okwewala okutumbula omuze guno.

Kino kijjidde mu kiseera nga palamenti enkya yeetegekera okwanjula ebbago ly’etteeka erikugira bannauganda okulibwa ebisiyaga

Bino byogeddwa sipiika wa palamenti enkya ya leero Anita Among, mu kusaba okw’okwebaza okutegekedwa ku palamenti wansi w’omulamwa “Ekitangaala kyo kakyake; okuddamu okuzimba ekifaananyi kyaffe eky’Obwakatonda”.