Amawulire

Gavt esabiddwa okuteekawo enkola ezinayamba mu kulwanyisa mukenenya

Gavt esabiddwa okuteekawo enkola ezinayamba mu kulwanyisa mukenenya

Ivan Ssenabulya

May 14th, 2022

No comments

Bya Ndaye Moses,

Nga Uganda yetegeka okwegatta kunsi yonna okukuza olunaku lw’okujukira abantu abaafa akawuka ka mukenenya, olumanyiddwa nga international Aids candlelight day, abali mu mulimu ogwokulwanyisa obulwadde bwa mukenenya basabye gavumenti okuteekawo eneyambako okulamawo akawuka kano wetunatukira 2030.

Shakirah Namwanje,okuva mu kitongole kya  Uganda Network of Aids services organization (UNASO) agamba nti enkola za gavt mu kulwanyisa mukenenya za kuyambako n’abantu abawangala n’akawuka okufuna okuyambibwa okwenjawulo.

asabye wabeewo okukwatira awamu mu kulwanyisa mukenenya.

Omukolo ogwokujjukira abafudde mukenenya gwakubeerawo olunaku lwekya mu disitulikiti eye Bukedea.