Amawulire

Gavt esabiddwa okuteekawo enkola eneeyamba mu kutunda ebyámaguzi ebweru

Gavt esabiddwa okuteekawo enkola eneeyamba mu kutunda ebyámaguzi ebweru

Ivan Ssenabulya

June 16th, 2023

No comments

Bya Ndaye Moses,

Abakugu mu by’enfuna basabye gavumenti okukola enteekateeka enzijuvu egenda okuwa ebibangirizi by’amakolero ebyakatondeddwawo amaanyi okufulumya ebintu ebigenda okutwalibwa ebweru w’eggwanga.

Dr Fred Muhumuza, omusomesa w’ebyenfuna mu yunivasite y’e Makerere era nga ye muwi w’amagezi ku nkulaakulana agambye nti ekituufu Bannayuganda ne govt balwana kudda ngulu mu byenfuna.

Agamba nti kyeraliikiriza nnyo okuba nti ebyenfuna by’ensi yonna biteeberezebwa okwongera okusereba mu Myezi 9 – 12 egijja era ekitongole kya Uganda Revenue Authority tekijja kusobola kusolooza musolo gwe bagenderera.

URA erina ekiruubirirwa ky’okusolooza obuwumbi nga shs 28 okusasula okuvujirira embalirira yéggwanga eyomwaka gwe byénsimbi ogujja.

Dr. Muhumuza ategezeza nti essuubi liri ku govt okutandikawo amakolero agagenda okutunda ebyamaguzi ebweru weggwanga okufuna kunsimbi ezimala.