Amawulire

Gavt esabiddwa okulowooza ku ky’okusomesa abavubuka eby’omukwano

Gavt esabiddwa okulowooza ku ky’okusomesa abavubuka eby’omukwano

Ivan Ssenabulya

July 16th, 2022

No comments

Bya Malik Fahad,

Abakugu mu by’obulamu bazeemu okusaba gavt okwongera amaanyi mu kutekesa munkola eby’okusomesa ku bikolwa ebyomukwano kuba kiyamba mu kulwanyisa akawuka ka mukenenya.

Omulanga guno guzze oluvanyuma lwa kkooti enkulu mu Kampala, okulagira minisitule eye byenjigiriza okuvaayo ne ntekateeka ey’okusomesa abayizi ebyomukwano oba kiyite sex education

Okusinzira ku Dr. Augustine Lubanga, akulira  ekitongole kya Uganda Cares, kawefube wokukendeza esasaana ya kawuka ka mukenenya azibuwaddemu, olwa bavubuka obutasomesebwa bikwate kungeri ya kwewalamu kawuka.

Ono mukakafu nti singa kino kikolebwa abavubuka bakuba na mawulire agamala okusobola okutangira obulabe obuyinza okubatukako