Amawulire

Gavt esabbiddwa kunsonga zábakadde mu kibuga

Gavt esabbiddwa kunsonga zábakadde mu kibuga

Ivan Ssenabulya

October 8th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Gavumenti esabiddwa okuwa abakadde bómu Kampala obujanjabi obwóbwerere naddala kundwadde enkakali ezibatawanya.

Bino byogeddwa Loodi meeya wa Kampala, Erias Lukwago bwabadde ayogerera ku mikolo egyókujaguza olunaku lwa bakadde egibadde wali ku city hall.

Lukwago agambye abakadde abali mu kampala batono nyo nga gavt singa yewaayo okubajanjaba ku ndwadde nga Sukaali ne puleesa kyakubawewulako okwelalikirira ensimbi zóbujanjabi.

Mungeri yemu Lukwago asabye gavumenti okwongera kunsimbi abakadde ze bafuna ezabuli mwezi emitwalo 25000 okudda ku mitwalo 10 kuba buli kintu mu kibuga kya buseere.