Amawulire

Gavt eragiddwa okusasula obukadde 70 eri omuntu gwe batomerera enju ye

Gavt eragiddwa okusasula obukadde 70 eri omuntu gwe batomerera enju ye

Ivan Ssenabulya

July 4th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti enkulu mu Kampala eragidde Government esasule obukadde bw’ensimbi za Uganda nsanvu eri abamaka e mmotoka ya government beyatomerera emizigo gyabwe mu mwaka gwa 2009.

Ekiragiro kino kiwereddwa omulamuzi Musa Ssekaana oluvanyuma lwokuwulira omusango nakizuula nti ddala e mmotoka ya government eyali evugwa omusirikale wa magye ga UPDF nga teriiko namba puleti yatomera enyumba eyogerwako.

 

Era omulamuzi alagidde government ensasule ensimbi bananyini nyumba eno zebasasanya musango guno ne interest eya 20%.

Enyumba eyogerwako yali yabapangisa nga esangibwa Bulemezi ku Block 29 plot 27 Kalagala Road, Bombo Town Council.

Kigambibwa enyumba eno yatomerwa neyononeka nga 13th January 2009.

Omusango guno gwawaabwa NASIF MUJIB ne Abdul Hamid Mujib nga bayita mu Mujib Juma Kenyi era nga baali bagala government ebaliyirire ensimbi ezisoba mu bukadde 800m wabula omulamuzi kyaganyi nti nyinji ate nga abantu bano tebaleeta mubalirizi okumanya, ekizimbe kyali kivaamu sente meka.