Amawulire

Gavt eragidde ebyapa bya Ham ku ttaka lya Kabaka bisazibwemu

Gavt eragidde ebyapa bya Ham ku ttaka lya Kabaka bisazibwemu

Ivan Ssenabulya

September 7th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Kaminsona avunaanyizibwa ku kuwandiisa ettaka aragidde ebyapa bina ebyafunibwa omugagga w’omu kampala, Hamis Kiggundu ku ttaka lya Kabaka erya Mailo ettongole e Kigo bisazibwemu.

Okusinziira ku nsala eyassibwako omukono Mugaino Baker nga September 6, 2022 ku lwa Commissioner, eragidde ebyapa bya Ham bisazibwemu mu bwangu nga bagamba nti ettaka lya Kabaka lyayingirirwa nga waliwo nobufere mungeri Ham gyeyafunamu ebyappa kuttaka lya kabaka nga ayita mu kakkiiko ke byettaka e Wakiso, nga kwogasse okufuna ebyappa mu lutobazi ekikontana ne ssemateka

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire e Bulange e Mengo, Ssaabawolereza w’obwakabaka, Christopher Bwanika agambye nti okusalawo kwa Kaminsona kugonjoola olutalo olumaze ebbanga wakati wa Hamis Kiggundu ne Kabaka wa Buganda ku bwannannyini ku ttaka e Kigo eriweza yiika 140.

agambye nti alipoota ya kaminsona eraga nti poloti 23974, 23975, 23976 ne 23977 eza Kiham enterprises Ltd zayingirira ebyapa bya mailo mu poloti 38, 8,99 ne 110 eza Kabaka wa Buganda.

Bwanika alaze essanyu olw’ensala ebadde emaze ebbanga ng’erindiriddwa