Amawulire

Gavt eragidde ebitongole okuvaayo ne biragiro ku bikolwa ebyókukabasanya abakyala

Gavt eragidde ebitongole okuvaayo ne biragiro ku bikolwa ebyókukabasanya abakyala

Ivan Ssenabulya

May 16th, 2022

No comments

Bya Ndaye Moses,

Gavumenti esabye ebitongole byayo ne byobwannanyini okubagawo ebiragiro ebinagobererwa mu kulwanyisa ebikolwa ebyokukabasanya abakyala ku mirimu.

Okusinzira ku kwakulira ensonga za bakyala mu minisitule eye kikula kya bantu, Mayanja Idi Mubarak buli kitongole kirina okuba ne biragiro kunsonga eno okutaasa abakyala abatusibwako ebikolwa ebyokukulusanya abakyala.

Mubarak okwogera bino abadde atongoza kawefube agenda okumala emyaka 5 owe kitongole kya UN women agenderedde okulaba nti wabaawo obwenkanya mu nsonga ze kikula kya bantu.

Ono agambye nti ebiragiro bino we byafunika ku ssentendekero e Makerere ebikolwa ebyokukabasanya abayizi byakendeera.