Amawulire

Gavt enenyezedwa okusala kunsimbi ze byénjigiriza ne byóbulamu

Gavt enenyezedwa okusala kunsimbi ze byénjigiriza ne byóbulamu

Ivan Ssenabulya

March 4th, 2021

No comments

 

Bya Benjamin Jumbe,

Abakugu mu byokunonyereza ku byenfuna balaze obwelalikirivu kungeri embalirira ye nsimbi zebitongole ebyenkizo gyeyasalidwamu.

Kino kidiridde gavt okukendeza ensimbi eri ekitongole ekye byobulamu ne kye byenjigiriza mu mbalirira eri mu bubage.

Bwabadde ayogerera mu lukungana olwokukubaganya ebirowoozo kunsonga za bantu ebenkizo mu ggwanga, akulira ekitongole ki Economic Policy Research Centre, Dr Ibrahim Kasirye agambye nti kya bulabe nyo gavumenti okusala ensimbi ze bitongole bino na ddala mu kiseera kino nge ggwanga lizeemu emabega bukya lyalumbibwa ekirwadde kya corona.