Amawulire
Gavt ekubiddwa mu mbuga kubyéddagala erigema Covid
Bya Moses Ndaye,
Nga Uganda etekateeka okugema bannauganda ekirwadde kya covid-19 mu ssabiiti ejja, bannakyewa bakubye gavumenti mu mbuga nga bawakanya ekya gavt okuwa akakwakulizo nti omuntu okugemwa abalina okuba nendaga muntu okukakasa nti munnauganda.
Bannakyewa bano okuli aba initiative for social and economic rights wamu naba unwanted witness bagamba nti ekyokusaba endaga muntu kigenda kuleka abantu bangi nga tebagemedwa
Okusinzira ku mukwanaganya wemirimu mu kibiina kya initiative for social and economic rights Allana Kembabazi, bagala kkooti esazeemu akawayiro kano kuba kagenda kuzza mabega kawefube wa gavt owokulwanyisa ekirwadde kino.