Amawulire

Gavt ekendeezeza ku bisaale eri abagala okuyungibwa ku Masanyalaze

Gavt ekendeezeza ku bisaale eri abagala okuyungibwa ku Masanyalaze

Ivan Ssenabulya

December 13th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu,

Gavumenti etongoza enteekateeka empya mwegenda okuyita okubunyisiza amasanyalaze okwetolola eggwanga ku beeyi eya wansi mu nkola eyakibanja mpola.

Enteekateeka eno etongozeddwa minista w’ebya masanyalaze Ruth Nankabirwa nga asinzira ku offiisi ye amakya ga leero.

Ategeezeza nti aba Uganda Development Bank beebataddemu ssente ng’omuntu yenna eyeetaga amasanyalaze nga oliraanye omuti gw’amasanyalaze era nga yamala okuwayalinga ennyumba kijja kweetaga emitwalo gya shilling 20 gyokka okusaba amasanyalaze ku offiisi ya Umeme yonna ekuliraanye ssente ezisigade zibeera zakusasulwa mu nkola eyakibanja mpola.

Ivan Kisembo akuliddemu enteekateeka eno okuva mu Uganda Development Bank annyonyode nti bakuvugirira enteekateeka eno okumala ebanga lya myaka 5.

Agamba nti bataddemu ssente obuwumbi 148 nga buli mwaka baakusasanya obuwumbi 29 ku maka emitwalo 11 gebalubirira okuyunga ku masanyalaze.

Ebbanga ery’emyaka 5 werinagwerako basuubira amayumba emitwalo 55 nga bamaze okugayunga ku masanyalaze.