Amawulire

Gavt eggumiza Abalamazi abalina okukozesa oluguudo lwa Masaka

Gavt eggumiza Abalamazi abalina okukozesa oluguudo lwa Masaka

Ivan Ssenabulya

May 18th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Gavumenti egumizza Abalamazi abatambula okuva mu maserengeta ga Uganda nti bagenda kusobola okukozesa olutindo lwa Katonga ku masaka road nga bagenda mu bigwa byábajulizi e Namugongo mu bikujjuko ebitegekebwa buli mwaka.

Oluguudo lwa Masaka –Kampala lugatta ebitundu bingi ku kampala n’ensalo z’amawanga nga Tanzania, DR Congo, Rwanda ne Burundi, wabula olutindo ku mugga Katonga lwagwamu mu ssaabiiti ewedde oluvannyuma lw’amataba agaava ku mugga Katonga Okubooga ekyaleetawo okutya mu balamazi okuva mu maserengeta ga Uganda nti bagenda kutambula kiromita endala 72 nga bayita e Ssembabule okutuuka e Namugongo.

Wabula bwabadde alambika ebituukiddwaako minisitule y’emirimu ne byéntambula nga bwekiri mu Manifesito ya NRM eya 2022-2026 ku ofiisi ya Ssaabaminisita, Minisita ow’emirimu n’entambula, Musa Ecweru, agambye nti buli kyetaagisa kyatuuse dda mu kifo okulaba nti omulimo gwokuddaabiriza olutindo luno gutandika, abalamazi webanatuukirawo nga luwende nga nábatambuza ebigere webalina okuyita wawedde.