Amawulire

Gavt efulumiza ekitundu ekyókubiri kunsimbi zókudukanya emirimu

Gavt efulumiza ekitundu ekyókubiri kunsimbi zókudukanya emirimu

Ivan Ssenabulya

October 7th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Minisitule y’ebyensimbi efulumizza obuwumbi musanvu n’obukadde 300 ez’ekitundu eky’okubiri mu mwaka gwe byensimbi 2022-23 nga kuliko n’ensimbi ezigenda okulinnyisa emisaala gya Bannasayansi.

Kiddiridde gavumenti okweyama ng’omwaka gw’ebyensimbi oguwedde gunaatera okuggwaako nti yakulinnyisa emisaala gya Bannasayansi okuli abasomesa, abasawo, Bayinginiya n’abaserikale ba UPDF okuva ku ddaala lya Colonel okutuuka ku General ow’emmunyeenye nnya.

Ng’afulumya ensimbi zino, Ssaabawandiisi wa minisitule eno ow’enkalakkalira Ramathan Goobi agambye nti ku nsimbi ezifulumiziddwa, obuwumbi bwa siringi 1 n’obukadde 700 za kukola ku kwongera ku musaala gwa Bannasayansi.

Mu kitundu ekisooka ekyomwaka gw’ebyensimbi gwetulimu, Minisitule teyafulumya nsimbi zino ng’emu ku nkola ezaateekebwawo okukendeeza ku nsaasaanya ya gavumenti olw’emiwendo gye bintu egyali waggulu.

Ebirala ebifulumiziddwa mulimu Obuwumbi 529 obwa Parish Development Model, Obuwumbi 305 obw’ebitongole by’ebyokwerinda, Obuwumbi 503 eri UNRA, Obuwumbi 205 eri Minisitule y’amasannyalaze n’ebirala.