Amawulire

Gavt eddukiridde essomero lya Kasana junior school nóbukadde 50

Gavt eddukiridde essomero lya Kasana junior school nóbukadde 50

Ivan Ssenabulya

November 1st, 2023

No comments

Bya Gertrude Mutyaba,

Minister w’eby’enjigiriza n’emizannyo Janet Kataha Museveni awaddeyo obukade 50 obwensimbi eza Uganda eri essomero lya Kasana Junior School  lino ng’ekisulo kyalyo kyakutte omuliro abaana 7 nebasirikka.

Ensimbi zino zeiwereddwayo omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Ministry y’ebynejigiriza Kate Lamano nga yazikwasizza abakulembeze b’essomero lino.

Lamaro yategeezezza nga buli maka g’omwana eyafudde bagenda kuguwa obukadde 5 ziyambeko mu nteekateeka y’okuziika wamu n’abo abakyaali malwaliro bawebwe buli omu akakadde kamu kayambeko mu kujjanjaba.

Wabula Lamaro yasabye abakulira amasomero okufuba okugobelera ebilagiro bya Ministry okwewala obubenje nga kano okubeerawo.