Amawulire

Gavt eddukiridde abaakosebwa Omuyaga e Ssembabule

Gavt eddukiridde abaakosebwa Omuyaga e Ssembabule

Ivan Ssenabulya

August 30th, 2023

No comments

Bya Malik Fahad,

Govt ya Uganda ng’eyita mu office ya prime minister, ewadde banna Sembabule kilo 20,000 ez’akawunga olwa kibuyaga n’emuzira ebyabakuba mumwezi ogwokuna omwaka gunno.

Abamu ku batuuze ku baasinga okukosebwa bava mu magombolola okuli Mijwala, Kawanda, Mabindo, Matete, ne Matete town council.

RDC wa sembabule Caleb Tukikiriza asabye abakulembeze b’amagombolola abakwasidwa emmeere eno okujitusa ku muntu w’awansi oyo asaana okujifuna era eyakosebwa mu mbeera eno,

Sentebbe wa district ye sembabule Patrick Nkalubo asinzidde wano nasiima abakulembeze bonna okukwatira awamu nebayamba kubantu mukaseera kebayiseemu ak’okusomozebwa okutuuka webafunidde obuyambi okuva mu gavumenti.