Amawulire

Gabula ayongedde okunyweera

Ali Mivule

September 17th, 2014

No comments

 

Kkooti etaputa ssemateeka egobye okusaba okwakoleddwa ekibinja ky’abasoga nti William Nadiope Gabula aleme kukola mirimu gya bwa kyabazinga

Abalamuzi abasatu abatuula mu kkooti eno nga bakulembeddwamu Remmy Kasule bategeraganye okugoba okusaba kuno oluvanyuma lw’abakussaayo okulo Wilson Muwereeza ne James Kawuuta bonna obutalabikako mu kkooti.

Abalamuzi bagamba nti ebbaluwa obubaluwa gyebaafuna tebasobola kugyesigamako kufuna lunaku lulala lwakuwulira kusaba kwaabwe

Bano nno baali bawandiikira kkooti ebbaluwa nga bategeeza nga bwebagaala obudde okukyuusa mu kusaba kwaabwe kyokka nga bbo benyini tebabaddeewo

Kino Kimazeewo emisango gyonna egivunaanibwa Kyabazinga Gabula eyatuuzibwa ku lw’omukaaga oluwedde