Amawulire
Fred Nyanzi Ssentamu asimattuse okuwambibwa
Bya Juliet Nalwooga
Akulembera oludda oluvuganya gavumenti, mu kibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi akubye omulanga kungeri muganda we gyeyabadde awambiddwamua.
Kyagulanyi ayise ku Facebook neku Twitter, nanyonyola engeri mukulu we Fred Nyanzi gyeyalumbiddwamu abakwata mmundu abajidde mu mmotoka kika kya Drone, wabula nabasimattuka.
Agambye nti bano bazze ngabakozi, abanoonya emirimu gya lejjalejja, nga bali mu ngoye ezabulijjo wabula yabatebuse nadduka okuyita mu mulwango gwe mmanju.
Nyanzi okudduka yamaze kulaba, omu ku bbo ngalina akabundu akatono kika kya basitoola mu kiwato.
Kigambibwa nti oluvanyuma, abasajja abalala abayingidde mu nnyumba nga bakaatanye ne mmundu enene nebateeka absigadde okwabadde ne muka Nyanzi ku udumu gwe mmundu.
Kyagulanyi agambye nti abasajja banpo, batutte mutabani wa Nyazi Happy Mugisha, nga negyebuli kati tamanyikiddwako mayitire.
Poliisi ebadde tenavaayo okunyonyola ku bulumbaganyi buno.