Amawulire

Fred Nyanzi addukidde mu Kkooti awakanya obuwanguzi bwa Nsereko

Fred Nyanzi addukidde mu Kkooti awakanya obuwanguzi bwa Nsereko

Ivan Ssenabulya

March 10th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Eyavuganya kububaka bwa palamenti obwa Kampala central ku kaada ya NUP Fred Nyanzi Ssentamu agenze mu kkooti nga awakanya obuwanguzi bwa Muhammad Nsereko.

Nyanzi ayagala kkooti enkulu emulangirire nti ye muwanguzi omutuufu oba okuddamu okubala obululu oba okulagira akakiiko ke byokulonda okudamu okutegeka okulonda

Ono alumiriza nti okulonda kwalimu ebilumira bingi

Okusinzira ku byalangirirwa akakiiko ke byokulonda Muhammad Nsereko yawangula banne 5 beyali nabo mu lwokaano bweyafuna obululu 16,998 ate Nyanzi nakwata ekyokubiri nobululu 15,975 Nsereko naba nga yamusinga nobululu  1021.