Amawulire
FDC olwaleero bakusisinkana abesimbyewo
Ab’ekibiina kya FDC olwaleero bakusisinkana abesimbyewo ababiri abasunsuddwa ku ky’okukwatira ekibiina bendera mu kulonda kwa 2016.
Ababiri kuno kwekuli ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu negweyaddira mu bigere Dr. Kiiza Besigye nga era bano balina emyezi 2 okumatiza abakungu b’ekibiina okubalaonda.
Ssentebe w’akakiiko k’webyokulonda mu kibiina kino Dan Mugarura ategezezza nga ensisinkano eno bwegendereddwamu okubangula abesimbyewo ku mateeka gebalina okugoberera mu kusaba akalulu okwewala obuvuyo.
Mugarura agattako nti mu myezi 2 gyokka ababiri bano balina okutalaaga disitulikiti 112 zonna ewali abakungu b’ekibiina kino.