Amawulire
FDC ne JEEMA banenyezeddwa okwebalama olutuula lwa IPOD
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina omwegatira ebibiina byóbufuzi ebiwandiise mu mateeka ki National Consultative Forum kilaze okunyolwa olwebimu ku bibiina byobufuzi okuzira olutuula lwomukago ogutaba ebibiina ebirina abakiise mu palamenti ogwa IPOD olugenda okubaao ku lunaku olwokutaano.
Kino kidiridde ekibiina kya Forum for Democratic Change nekya Justice Forum okulangirira nga bwebatagenda kwetaba mu lutuula luno olwenjawulo nga bagamba nti omukago gwavadda ku mulamwa
Mu kwogerako ne bannamawulire mu Kampala, omwogezi wékibiina kino, Micheal Osinde, agambye nti kino kye kiseera ebibiina byobufuzi okuyiga okuzanya ebyobufuzi ebye kikulu mu kifo kyokuguguba buli kadde.
Ayongeddeko nti bannauganda abalindiridde okulaba ku nkyukyuka bamaliddwamu nyo amaanyi olwa bannabyabufuzi abenonyeza ebyabwe.
Mungeri yemu Osinde akitanyiza nti entuula za IPOD mukisa munene nyo bannamukago mwebalina okwanjiza ebiyinza okutwala eggwanga mu maaso.