Amawulire

FDC ewagidde ekyókutwala Gen Muhoozi mu Kkooti

FDC ewagidde ekyókutwala Gen Muhoozi mu Kkooti

Ivan Ssenabulya

May 9th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kya FDC kyaniriza ekyamunnamateema womu kampala okutwala Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba mu mbuga za mateeka olwokwenyigira mu byobufuzi nga tanawumula maggye.

Mu ssabiiti ewedde munnamateeka Tegule Gawaya, yatutte omusango mu kkooti etaputa ssemateeka nga alumirizi Gen Muhoozi okutegeka enkungana ze byobufuzi okuyita mu kutegeka obubaga bwa mazaalibwa kyokka nga tanawumula maggye ga ggwanga.

Ssemujju Nganda, agamba nti enneyisa ya Muhoozi ekontana ne ssemateeka ne tteeka lya UPDF kunneyisa yómusirikale.

Ayongedeko nti ebyokukubisa T-shirt eziranga nga bwagenda okuvuganya kuntebbe eyomukulembeze weggwanga mu kulonda okujja okwa 2026 kikyamu.