Amawulire

FDC etegeka kuwawabira Gen Kale Kayihura.

Ivan Ssenabulya

March 12th, 2018

No comments

Bya Ssenabulya Ivan.

Abakulu mu kibiina kya FDC bategeezeza nga bwebategese okutwala Gen kale kayihura  nga bamulanga kuboononera bintu.

Bano bagamba nti nga okulonda kwa 2016 kuwedde, baali bategese ekifo eky’okubaliramu obululu wali e Najanankimbi, kyoka Kayihura n’aduumira basajjjabe  okwali omugenzi  Andrew Felix Kaweesi ne Asuma Mugyenyi okulumba ekifo kino okukakana nga ebintu by’abuwmbi nga butaano  byononse.

Kati bwabade ayogerako ne banamawulire wali ku yafesi z’ekibiina kino e Najjanankumbi , ssabawandiiisi w’ekibiina kino Nathan Nandala Mafabi, agambye nti abaserikale wansi wa Kayihura baatwala  computer  20 , ebyuma ebifukumya  ebiwandiiko [ printer] sente enkalu obukadde 200 .TV , cards z’ekibiina ko n’ebirara.

Kati bano baagala abakulu bano okuli n’omugenzi Kaweesi babitebye.