Amawulire

FDC etabuse ku bisaawe by’emizanyo ebitundibwa

FDC etabuse ku bisaawe by’emizanyo ebitundibwa

Ali Mivule

September 5th, 2016

No comments

 

kaijaAb’ekibiina kya FDC baagala gavumenti eteeke nyo essiro ku kuzimba ebisaawe by’emizanyo egyenjawulo okusobola okukuumira ebyemizanyo waggulu.

 

Okwogera bino nga Uganda ekyajaganya olwa Uganda cranes okwesogga eza Africa olunaku lw’eggulo bwebakubye Comoros 1-o.

 

Kati nga ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina wali e Najjanankumbi, amyuka ssabawandiisi w’ekibiina kino Harold KAIJA ategezezza nga ebisaawe bingi bwebitundiddwa nga n’ebiliwo bili mu mbeera mbi nyo ddala.

 

Era nno mungeri yeemu ayozayozezza nyo bannayuganda wamu ne Uganda cranes olwokutuuka ku buwanguzi olunaku lw’eggulo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *