Amawulire

FDC esabye Amongi okutunulira enyo ebizibu ebiruma abantu

FDC esabye Amongi okutunulira enyo ebizibu ebiruma abantu

Ivan Ssenabulya

March 28th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ab’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) basabye eyakalondebwa ku kifo kyobwa sipiika wa palamenti essira aliteeke ku bintu ebiruma abantu ba bulijjo.

Among yalondebwa kubwa sipiika mu ssabiiti ewedde okudda mu kifo kya Jacob Oulanya eyali mukamaawe wabula katonda namujjulula okuva mu bulamu.

Mu kulonda okwali ku kisaawe e Kololo, Thomas Tayebwa naye yalondebwa okuba amumyuka wa sipiika, ekifo ekyalimu Amongi.

Amyuuka omwogezi wa FDC John Kikonyogo ategezeza banamawulire ku kitebe kyekibiina e Najjanankumbi akubiriza abakulembeze abgya obutakulembeza kibiina kyabwe wabula bakole kunsonga eziruma abantu nga batwala ekyokulabirako kyo Oulanya.

Mungeru yemu FDC esomozeza Among okulwanyisa ebikolwa ebyokutyoboola eddembe lyobuntu ebiri mu ggwanga mu kiseera kino.