Amawulire

FDC erangiridde emikolo gya’bakozi egya’yo

Ivan Ssenabulya

April 30th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Ivan Ssenabulya

File Photo: Abakoozi nga bali ku gyabwe

Uganda yakwegatta ku nsi yonna okukuza olunaku olw’abakozi, olwemkya.

Emikolo gye gwanga emitongole gitegekeddwa okubeera mu district ye Ssemababule.

Wabula owaleero abekibiina kya FDC balangiridde emikolo egyabwe, ejigenda okukwatibwa mu district Buikwe.

Bwabadde ayogereko ne banamawulire Habib Buwembo akola ku by’ekikula kyabantu mu kibiina agambye nti eno gyebagenda okusinziira okulangirira enongosereza zebagala zikolebwe mu nsonga zabakozi, ate nokuwabula gavumenti.

Ono agamba nti kitutte ebanga nga gavumenti tefaayo ku nsonga eziruma abakozi, kale kyamakulu bano okuvaayo babeeko byebalambika.

Aba FDC mungeri yeemu bambalidde gavumenti ku bisubizo byayo, okutekawo omusaala ogwe ssalira, ogusokerwako eri abakozi wabula ekikyagaanye.

Omumyuka womwogezi wa FDC Paul Mwiru, asabye gavumenti kino okukitunulamu.

 

Yyo gavumenti okuyita mu ministry eyekikula kyabantu, ekubidde abakozi omulanga, okuvangayo baloope byonna ebimenya amateeka ebibakolwako.

Bwabadde ayogera ne banamwulire wakati mu kwetegekera olunna kyu lwabakozi olwenkya, minister omubeezi owekikula kyabantu Peace Mutuuzo akaksizza nti abakozi bakumibwa mu mateeka.

Emikolo gye gwanga emitongole gigenda kubeera mu district ye Sebambule nga jivugidde ku mubala “okutumbula omwyoyo gwokukola mu bakozi ba gavumenti”

Mutuuzo akaubye omulanga nti abakozi ba gavumenti ddala batekeddwa okuwereza gavumenti nabantu nga bwebeyama, era kulwobulungi bwe gwanga.