Amawulire

FDC efundikidde okulonda abakulembeze

FDC efundikidde okulonda abakulembeze

Ivan Ssenabulya

September 2nd, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Akakiiko ke byokulonda mu kibiina kya FDC mu butongole kalangiridde nti kamalirizza okulondesa ebifo byonna mu kibiina kya FDC eby’obukulembeze bw’ebitundu.

Kati ekisigalidde kwekuyingiza amannya g’abakulembeze mu bitabo by’ekibiina ebitongole.

Akakiiko kano kaali kaalangirira dda nga bwekamaze okulondesa eggwanga lyonna, wabula district ye Kasese nesaba nti baali bakyaali mu kiyongobero ky’abaana b’essomero abaalumbibwa abayeekera,era nabo baabawadde omukisa wiiki eno nebenyigira mu kalulu nebalonda abakulembeze abaggya.

Abakulu mu kakiiko ke byokulonda mu FDC bagamba nti omulimu gwonna gwakomekerezedwa nga 31 August 2023.

Ssabawandiisi w’akakiiko ke byokulonda mu FDC Ojobile Augustine agambye nti okulonda kw’ekibiina okunaddako kwakubaawo mu 2029.