Amawulire

FDC ebanja kadaga ayogere kubya poliisi okubagaana enkungaana

Ivan Ssenabulya

October 23rd, 2017

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Abekibiina kya FDC bavuddeyo okubanja, omukubiriza wolukiiko lwe gwanga olukulu Rebecca Kadaga, okuvaayo ayogere ku kiragiro ekyaweze enkungaana zaboludda oluvuganya gavumenti ezokwebuuza ku balonzi, mu kukola ennongosereza mu ssemateeka.

Bwabadde ayogera ne banamwulire ku kitebbe kyekibiina e Najjanakumbi, omumyuka womwogezi wekibiina Paul Mwiru ategezeza nti Kadaga yasindika ababaka bano mu balonzi, wabula ate kyewunyisa nti police yayimirizza entekateeka ya palamenti eno.

Aba FDC bagamba nti spiika tagwanidde kwetulako alina okuvaayo abeeko byatangaaza.

Kinnajjuirwa nti poliisi yaweze ekungaana, naddala ababaka okugenda ate mu bitundu byebatakiriramu bantu.