Amawulire

FDC banjudde Lukwago ngamyuka pulezidenti

FDC banjudde Lukwago ngamyuka pulezidenti

Ivan Ssenabulya

September 13th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Ekibiina kya Forum for Democratic Change ekivuganya gavumenti baanjudde Lord Mayor wa Kampala, Erias Lukwago ngamyuka ssentebbe wekibiina omugya owekitundu kya Buganda.

Lukwago yazze mu kifo kya Owek Joyce Nabbosa Ssebugwawo eyava mu kibiina bweyaweebwa obwa minisita mu gavumenti ya Pulezidenti Museveni.

Bwabadde ayogerera ku mukolo gwokwnajula abakulembeze abgya ku kitebbe kyekibiina e Najjanakumbi, Lukwago nga baakamwanjula agambye nti agenda kukozesa obukugu bwe mu byobukulembeze okuddukanya ekibiina kya FDC.

Yeyamye nti waakunyweza ennono zekibiina.

Abalala benajudde, kubaddeko omubaka omukyala owa disitulikiti ye Soroti Anne Adeke yamyuka pulezidenti mu Buvanjuba bwegwanga, eyali omubaka we Obongi Hassan Kaps Fungaroo ngomukunzi w’ekibiina.

Fungaroo yazze mu bigere bya Ingrid Turinawe eyajemera ekibiina neyessimbawo nga namunigina mu kulonda kwa 2021.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *