Amawulire

Father Lukodo agobye olukungaana lwa ssiriimu

Ivan Ssenabulya

May 2nd, 2018

No comments

File Photo: Fr Lukodo

Minister omukwasisa wempisa nobuntu bulamu Fr Simon Peter Lokodo ayimirizza olukiiko olubadde lugenda okutuula olukwata ku ssiriimu, ngategezeza nti lwategekeddwa kutumbula bisiyaga.

Bwabadde awayaamu naba Daily Monitor Fr Lokodo ategezeza nti olukiiko luno lubadde lutegekeddwa akakiiko akavunazyizibwa okulwanyisa ssiriimu aka Uganda Aids Commission naba Most-At-Risk Population Network Limited, nga lubadde lwakubaawo okuva nga 9 okutuukira ddala nga 10 May mu kiffop ekimu mu Kampala.

Ategezeza nti olukunguuna lwebabadde batuumye “First Annual Conference on Key and Priority Populations,” abadde kigumaaza, ekigendererwa kubadde kutumbula bya mukwano ogwekikula ekimu.

Agambye nti bweyalabye abategese nga kuliko Nicholas Opiyo owekitongole kya chapter 4 ne Frank Mugisha owa Sexual Minorities Uganda entekateeka yye nazekengeera.

Fr Lokodo era agambye nti akulira akakiiko ka Uganda Aids Commission Dr Nelson Musoba yabadde abyesamudde.

Wabula ate Dr Musoba bwatukiriddw agambye nti bbo kyebakoze kwekwongezaayo entekateeka, okwawukana ku bino Lukodo byayogera.