Amawulire

Ez’amasiro endala zisondeddwa

Ali Mivule

April 8th, 2014

No comments

Katikkiro in Ankole

Ensimbi ezisoba mu bukadde 35 zezakasondebwa  abatuuze be Gombolola ye Kasanje mu Busiro , mu kawefebe wa Katikiro owokusonda ensmbi z’amasiro ge Kasubi.

Abantu ba Ssabasajja abe Kasanje era bawaddeyo magulu kummi z’omusanyu ezatuuse edda mu Bulange.

Ssentebe wa Kasubi Masiro Gwanga mujje  Freeman Kiyimba agambye nti okusonda ku kaygenda mu maaso era nga basubira ensimbi okweyongera.

Ono agambye nti kati essira bagenda ku liteeka ku kuzimba ekizimba kya Bulange Plaza kubanga kati amasiro ganatera okumalirizibwa.