Amawulire

Eza PDM zitabudde abatuuze e Bundibugyo

Eza PDM zitabudde abatuuze e Bundibugyo

Ivan Ssenabulya

July 14th, 2022

No comments

BYA LONGINO MUHINDO                         

Abatuuze mu district ye Bundibugyo abewandiiisa okuganyulwa mu nkola ya Parish Development Model bavudde mu mbeera baagala banyonyolwe lwaki buli sacco yaweereddwa ensimbi obukadde 7 mu kifo kyo bukadde 17 obwalambikiddwa.

Kinajjukirwa nti mu kutekateeka enkola eno gavumenti yasuubiza nti yakutandika na kugaba ensimbi obukadde 17 eri buli ssaco, kyoka abe Bundibugyo baagenze okukebera ku account zaabwe nga baabawadde musanvu gwokka

Balaba Mudau, ssentebe wa Bindingoma parish Sacco mu gombolola ye Bundingoma agamba nti obukadde buno omusanvu bwebabwadde tebugenda kubagasa, kale nga baagala kunyonyola okutaliimu na kutamattama – ani yatutte ssente zabwe.

Akulira abakozi ba gavumenti mu district eno Enid Kajumba, agambye nti ensonga eno bagitegede, era baakutegeeza minisitule ye byensimbi enonyereze ku mayitire g ‘obukadde 10

Ate yo mu district ye Kikuube minisita we by’entambula Fred Byamukama, alagidde okugaba ensimbi za PDM kugire nga kulinda- kuba akizudde nga waliwo abatandise okuliira mu kavuyo.

Minisita okutaama kyadiridde RDC Amlan Tumusiime, okumutemyako nti waliwo abaamagombolola abasaba abantu ensimbi wakat wa 50,000 – 200,000 nga beefudde ababayambako okuggulawo account- ekimenya amateeka.

Kati byamukama alagidde omulimo gwokugaba ensimbi gulindemu okutuusa nga yebuuzizza ku mukamaawe ssabaminisita.