Amawulire

Eyekebezza nga mulwadde wa mukenenya asazeewo kwetta.

Ivan Ssenabulya

November 7th, 2017

No comments

Bya Malik Fahad.

 

Ku kyalo Kyakuduse  e Kyotera waliwo omusajja akedde okwetta  bwakitegedeko nti akawuka ka mukenenya kaamukwatadda.

Joseph Kayiwa  nga ono ye ssentebe w’ekyalo Kyakuduse  agambye nti omusajja eyesse Godfrey Matovu era  nga ono asangiddwa nga alengejera ku muti gw’omuyembe okumpi n’amakaage.

Kigambibwa nti ono egulo yagenze neyekebeza akawuka ka mukenenya, wabula bweyakizuude nti mukeenya amuluma naanyiga nasalawo n’okweyawula ku bantu

Lameck Kigozi  nga ono yayogerera police yeeno akakasizza okufa kw’ono.