Amawulire

Eyazaala abaana mu muwalawe akwatiddwa.

Ivan Ssenabulya

March 12th, 2018

No comments

Bya Mbogo Sadata.

Police e Buwama eriko omusawo ow’ekinnansi  gw’ekutte n’eggalira lwakuzaala abaana 2 mu mwanawe gwazira.

Musajja mukulu  ono ow’emyaka 60 okukwatibwa, kiddiridde ssentebe w’ekyalo Kanaani  Ssemuju Robert okutemya ku police nga omukwate bw’abadde yakazaala mu muwalawe ow’emyaka 20 gyoka  baana okuli ow’emyaka ebiri n’ekitundu n’owena.

Kigambibwa nti ono abadde yayawukana ne mukyalawe emyaka egiri eyo mu 10 emabega nga kati okusula ne muwalawe kyamuwaliriza okutandika okumukozesa nga mukyalawe n’atuuka n’okumuzaalamu.

Aduumira police y’e Buwama, Joseph Kamukama agambye nti ono amaze okuggulibwako emusango okuli ogw’okukaka akaboozi, okuwasa omuwala atanneetuuka n’okuzaala mu muwalawe