Amawulire

Eyayiridde munne Acid akwatiddwa

Ali Mivule

July 23rd, 2013

No comments

thugs arrested

Poliisi e Mukono kyaddaki ekutte omusajja eyayiiridde munne acid

Badru Kawuki ono kigambibwa okuba nga yalumbye Siraje Ssenyonjo mu dduuka lye n’amuyiira acid yenna

Mukyala wa senyonjo ali ku kitanda agamba nti entabwe yavudde ku kakadde kamu omusajja ono ke yewola ku bba ng’abadde azimubanja

Akulira okunonyereza e Mukono, Henry Mugumya agambye nti bakyagenda mu maaso n’okunonyereza nga bwebalinda n’eyayiibwa acid okukuba ku matu ababuulire nga bwebyaali.

Mu ngeri yeemu poliisi ekoze ekikwekweto mw’eyoledde abagambibwa okuba abazigu abali mu 30

Abakwatiddwa bateberezebwa okubeera abakubi b’obutayimbwa, n’ababbi abanyagulula abantu mu ngeri zonna

Abamu ku bakwatiddwa basangiddwa n’obuveera bw’enjaga

Akulembeddemu ekikwekweto kino, Retty Kasiime agamba nti bakoze ekikwekweto kino oluvanyuma lw’abantu okwemulugunya ku ttemu elikutte wansi ne waggulu mu bitundu bye Mukono.