Amawulire

Eyawangula obwa MP bamukutte kugwa kubba ssimu

Eyawangula obwa MP bamukutte kugwa kubba ssimu

Ivan Ssenabulya

March 14th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Poliisi mu Kampala ekutte omubaka omulonde owa Busiro North, nga kigambibwa nti yabbye essimu kika kya itel eyabaddeko Mobile Money obukadde 4 nekitundu.

Paul Nsubuga owekibiina kya NUP yeyawangula omubaka Ssozi Galabuzi bamukwatidde ku Serena Hotel nga bwetwogerera bamugalidde ku CPS.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirwano Luke Owoyesigyire agambye nti okukwatibwa kwe kyadiridde omusango Gloria Namengo gweyaloopa, ngono era mutuuze Kawempe.

Okusinziira ku Namengo, nga 3 mu June wa 2019 ku ssaawa nga 7 ezemisana e Nakasero okumpi ne Shoprite ya Entebbe Road, Nsubuga ono yabba ssimu ye gyakozesa ku Mobile Money, ngakasimu kano katono kika kya mapeesa, kabalirirwamu emitwalo 8.

Owoyesigyire agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso, okukakasa ebyogerwa omukyla ono, nga kisubirwa nti mu mbeera yeemu abaddenga abba abantu mu mbeera yeemu.

Owoyesigyire agambye nti File ya Nsubuga, bagenda kujitwala ku ewomuwaabi wa gavumenti, okubawabula oluvanyuma omuvunanwa bakumutwala u kooti.