Amawulire

Eyawambye no’kutta omukazi e Masajja bamukutte

Ivan Ssenabulya

March 26th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Police ye Katwe eriko omusajja gwegalidde ku byekuusa ku kuwamba nokutta omukazi e Massaja ku nkingizzi zekibuga ekikulu Kampala.

Charity Kyohirwe owemyaka 33 omulambo gwe gwazuliddwa e Nalukolongo ku Lwomukaaga, oluvanyuma lwokuwambibwa abatamanya ngamba ku Lwokuna lwa wiiki ewedde.

Bwabadde ayogera ne banamwulire ku CPS omwogezi wa police mu gwanga Emilian Kayima ategezeza nti omukwate ye taata womugenzi wabulanga tamwatukirzza mannya, nti kyandigotaanya okunonyererza okukyagenda mu maaso.

Okuwambibwa kwa Kyohirwe kwekugiberedde obutemu obwakolebwa ku Susan Magara.