Amawulire

Eyawa omwana omusaayi babadde bamutta

Eyawa omwana omusaayi babadde bamutta

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abatuuze be Kitega mu munisipaali ye Mukono bekumyemu
ogutaaka nebasanyawo omudaala gwomukazi, gwebalumiriza okuliisa omwana wa baabwe omusaayi gwe.

Annet Namata yali yakwatibwa ku lw’okutaano ku misango gy’okulisa omwana wa mugyawe omusaayi, gwe ngali mu nsonga wabula poliisi ye Mukono, yamuyimbudde ku kakalu kayo.

Kati abatuuze olumulabyeko bavudde mu mbeera, nebakoonakoona omudaala gwe, wabadde akolera era nebagukumako omuliro.

Abatuuze era bagezezaako okusasanyawo enyumba ye, wabula Nabakyala, Suzan Mayanja yabawoyawozezza, obutatwalira mateeka mu ngalo.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango, nayenga file ye eri wa muwaabi wa gavumenti, era waakutwalibwa mu kooti.