Amawulire

Eyatwaliira amateeka mu ngalo bamusibye emyaka 11
Bya Malikh Fahad
Kooti enkulu e Masaka eriko omusajja wa myaka 40 gw’esindise mu kkomera yebakeyo emyaka 11.
Aloysius Kityo nga mutuuze ku kyalo Mbulire mu gombolola ye Bigasa mu district ye Bukomansimbi, asingisiddwa omusango gwokutwaliira amateeka mu ngalo natt abantu 2.
oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Amina Akasa lutegezezza kooti, ebadde ekubirizibwa omulamuzi Winfred Nabisinde nti omuvunanwa nabantu abalala 2 abakyayigibwa, baakuba John Sibo ne Peter Masimu nebabatta.
Ono omusango yaguzza nga 13 mu June wa 2018, bwebakuba abantu bano, nga babalumiriza okubba eggaali.