Amawulire

Eyatunda kalittunsi wa gavumenti asibiddwa emyaka 2

Ali Mivule

January 14th, 2015

No comments

Damien Akankwasa

Eyali akulira ekitongole ky’ebibira mu ggwanga Damien Akankwasa asibiddwa emyaka ebiri lwakuvvoola ofiisi ye

Omulamuzi wa kkooti ekola ku gy’obukenuzi Sussane Okeny y’asibye Akankwasa ng’agamba nti afunye obujulizi bwonna obukakasa nti Akankwasa yadda ku miti gya kalittunsi egiwera omutwaalo mulamba n’agitunda nga buli gumu gugula emitwalo 2.

Kkooti era ekizudde nti Akankwasa yagaana okuwuliriza atwala eby’okusimba emiti mu kitongole kino.

Emisango gino yagizza nga 23 omwezi gw’okutaano omwaka 2008.

Ggwo omusango ommulala ogumuvunaanibwa gwakutandika okuwulirwa nga 3rd February omwaka guno.