Amawulire

Eyatulugunya omwana we bamumujjeeko

Ali Mivule

March 25th, 2014

No comments

Woman kills dad

Omukyala ow’emyaka 22 agambibwa okutulugunya omwana we gweyakeera enkya n’azaala asibiddwa omwaka gumu n’emyezi kkumi

Kooti etuula ku city hall y’esalidde Sadriano Kemigisha ekibonerezo

Omukyala ono ategeezezza kooti ekubirizibwa mulamuzi Juliet Hatanga nti yasalawo okutulugunya mutabani we kubanga kitaawe w’omwana abadde yamusuulawo

Omukyala ono agambye nti kitaawe w’omwana ono omuzungu enzaalwa ye Denmark olwakizuula nti amufunisizza olubuto

Omukyala ono asindikiddwa e Luzira ate nga yye omwana atwaliddwa mu kifo ekirabirira abaana ekya Noah’s ark nga bwebanoonya kitaawe

Omukyala ono era abadde alina bebi wa wiiki omukaaga gweyazaala mu muyindi nganaye bamuwadde kitaawe