Amawulire

Eyatta omwana ku KCCA ajjiddwaako emisango

Ali Mivule

March 23rd, 2015

No comments

KCCA and husband

Ssabawaabi wa gavumenti ejjeyo emisango egibadde givunanibwa dereva wa KCCA eyadda emabega n’afotola omwana ow’emyaka ebiri n’ekitundu wali ku ofiisi za KCCA ku City hall.

Ku ntandikwa y’omwaka guno KCCA y’aliyirira bazadde b’omwana ono n’obukadde 50 nga era maama w’omwana Madinah Namutebi  y’akola sitetimenti endala ejjayo omusango oluvanyuma lw’okufuna ensimbi zino.

Munnamateeka wa gavumenti  Immacukate Nyambaju y’awaddeyo ebbaluwa ejjayo omusango guno nga y’awandiikibwa ssabawaabi wa gavumenti mu  February 25th.

Wano omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road  Joan Achiro  w’asabidde enjuyi zombi okumaliriza  ensonga zino wabweru wa kkooti.

Anwali y’akwatibwa oluvanyuma lw’okutomera Rayan Ssemaganda eyali alekeddwa nyina wabweru wa kkooti ya KCCA oluvanyuma lw’okukwatibwa nga arundira ku kubo.