Amawulire

Eyatta mukyala we gatandise okumumyuuka

Ali Mivule

April 8th, 2014

No comments

murderer

Omusajja agambibwa okutta mukyala we nga bali ku hanemuunu asindikiddwa mu ddwaliro ly’abatabufu b’emitwe mu ggwanga lya South Africa.

Shrien Dewani, ow’emyaka 34 alabiseeko mu kkooti enkulu ku by’okutta mukyala we ow’emyaka 28  ng’ono yamukuba masasi mu kibuga Capetown.

Omusajja ono enzaala ya Bungereza yegaana ebigambo bino

Ono yatwaliddwa mu ggwanga lya South Africa gyeyaddiza emisango ng’eno emaze emyaka 3 nga yepena yo.