Amawulire

Eyasudde kasasiro mu paaka akwatiddwa.

Ivan Ssenabulya

March 28th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah.

Waliwo omutuuze eyavudde e Jinja n’asuula kasasiro mu paaka enkadde wano mu Kampala okukakana  nga atwaliddwa mu  komera e Luzira.

Laroo Peter ow’emyaka 28 nga yavudde  Jinja  kigambibwa nti nga March 26th 2018 ku paaka enkadde yakwatibwa aba KCCA abakwaasi b’amateeka ng’alya asuula mu paaka.

Wabula Laroo yeeganyi omusango mu maaso g’omulamuzi we daala erisoka ku City Hall Patrick Talisuna.

Kati asindikiddwa ku alimanda mu komera e Luzira okutuusa April 13th oluvanyuma lw’okubulwa abamweyimirirwa.