Amawulire

Eyasse Omuyindi agibwako sitetimenti

Eyasse Omuyindi agibwako sitetimenti

Ivan Ssenabulya

May 15th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

I van Wabrire, omuserikale wa poliisi eyasse omuwozi wa ssente alabiseeko mu kkooti ya Buganda Road n’akola sitatimenti.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire e Naguru, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga agambye nti fayiro y’omusango gwe ewedde era eweereddwa yafeesi ya ssabawaabi wa gavumenti, omusango gutandike okuwulirwa.

Enanga agamba nti bino byazeewo oluvanyuma lwe bigambibwa nti Wabwire yakuba Uttam Bhandari, maneja wa TFS Financial Services amasasi agamujja mu budde olwebbanja lyeyalya nalemererwa okusasula ne lizaala amagoba mangi.

Enanga ayongerako nti bwe yakwatiddwa e Busia mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga, Wabwire eyalabise ng’ali mu mbeera nnungi nnyo yakyusibwa n’atwalibwa ku kitebe mu Kampala gye yakeberebwa omusawo omukungu n’akakasa nti talina buzibu bwonna ku bwong, byonna byeyakola yali ategeera bulungi.

Enanga agamba nti omutemu agenda kuggulwako omusango gw’obutemu.