Amawulire

Eyasobya kwemyaka 2 bamusibye mayisa

Ivan Ssenabulya

March 9th, 2018

No comments

MUKONO

Bya Ivan Ssenabulya

Omulamuzi wa kooti enkulu e Mukono Margret Mutonyi  aliko omusajja gwasibye amayisa oluvanyuma lwokukkiriza omusango nti ddala yakabasanya ebbujje ery’emyaka 2.

Musa Mulo owemyaka 69 nga Imam ku muzikiti gw’e Kibubbu mu munisipaali eye Lugazi mu district ye Buikwe yagenda okumala obulamu bwe bwonna mu kkomera.

Omusajja ono akirizza nti yasobya ku mwana wa mulirwana mu mwaka gwa 2012.

Omuwambi wa gavumenti Janet Kitimbo ategezezza nti omwana ono yali alekeddwa awaka ne mukulu we.

Bwabadde awa ennamla eno omulamuzi Mutonyi ategezezza nti Mulo kyeyakola kwali kwefuula kimpemempeme kalenga tasaana mu bantu.