Amawulire

Eyasobya ku w’emyaka 7 asindikiddwa mu kooti enkulu

Ivan Ssenabulya

March 7th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Omusajja ow’emyaka 22 agambibwa okusangibwa nga asobya ku kawala ak’emyaka 7 gyoka asindikiddwa mu kkooti enkulu atandike okuwerenemba n’omusango, gw’okusobya ku mwana atanetuuka.

Bogere Julius ng’akumibwa mu kkomera e Luzira okuva mu mwezi gw’omwenda 2017 olwaleero asimbiddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi lye ddaala erisooka Beatrice Kainza amusindise mu kkooti enkulu oluvanyuma lwa lwomuwaabi wa gavumenti, Jackie Kyasimire okumutegeeza nti okunonyereza ku musango kwawedde.

Omulamuzi alagidde abasirikale b’amakomera omusajja ono bamuzeeyo ku alimanda okutuusa kkooti enkulu lwerimuyita.

Kigambibwa nti omwami ono omusango yaguza nga September 14th 2017 ku Mawanda road mu Kampala.

Okusinzira ku biwandike ebireteddwa Bogere yakwatibwa lubona ngakaana kano akatuzizza ku mubiri gwe bakola ebyensonyi.

Kigambibwa nti yakagwikiriza kava ku ssomero lya Kitante P/S nga kati kali mu kibiina ky’akusatu, wabula we yakasobezaako kaali mu kibiina kya kubiri.